Wednesday, 22 March 2017

Translators' Network International


Pastor Chris:Global Prayer Network.

LUGANDA....
Okusaba ku sawa 6 ezo mutuntu n'esawa 4 ez'ekiro (Local/GMT) - olunaku olwokusatu omwezi gwokusatu nga 22.
Tutudde wamu ne Kristo mu bifo ebyo mu ggulu, era n'ebintu byonna biri wansi wa ffe. Yongera okuyiga mu rhapsody y'olwa leero oba gifune ku mukutu guno http://rhapsodyofrealities.org Zabbuli 103:1-5 egamba: "Tendereza Mukama gwe emeeme yange: na buli kimu ekiri mu nze, tendereza erinya lye ettukuvu.Tendereza Mukama gwe emeeme yange, era teweerabira birungi bye byonna: Asonyiwa ebyonoono byo byonna; awonya endwadde zo zonna; alokola obulamu bwo okuva mu kuzikirira; akujjuza okwagala ekisa n'okusaasira; akkusa akamwa ko n'ebintu ebirungi; olwo obuvubuka bwo buzzibwe buggya nga empungu"
Ku sawa 6 ezo mutuntu n'esawa 4 ez'ekiro tugya kusaba n'amaanyi mu mwoyo, era tufumiitirize ku kyawandiikibwa ekyo waggulu.
Leka Omwoyo Omutukuvu asiikuule omutima gwo okusiima okwagala ,ekisa n'okusaasira kwa Katonda gyooli okusinga bulijjo.
Mutendereze era omusinze. Halleluya! Jjukira okugenda mu kusaba olwa leero mu Kkanisa oba ku mukutu gw'empuliziganya ogwo ku mpewo.
Katonda abawe omukisa.
for more info: www.kingsch.at

No comments:

Post a Comment